Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima nze nsenzezza abamu ku zzadde lyange mu lusenyi olutaliimu birime awali enyumba yo ey'emizizo, ayi Mukama omulabirizi waffe olwo babe, nga bayimirizaawo e sswala kale nno, fuula emitima gy'abantu egyagala okujja gye bali era obagabirire mu bibala basobole okwebaza.