Katonda yalagaanyisa abakkiriza abasajja, n’abakkiriza abakazi e jjana ezikulukutiramu e migga, b’akubeera mu zo bugenderevu, era baliweebwa e bisulo e birungi mu jjana ez’olubeerera, nga n'ekisingira ddala, bagenda kufuna okusiima okuva ewa Katonda, era ekyo kwe kwesiima okusukkulumu.