Abange mmwe abakkiriza, mazima bangi mu ba kabona, n’a basosodooti balya e mmaali y’abantu mu bukyamu, era nebaziyiza abantu okutuuka ku kkubo lya Katonda. N’abo bonna abakungaanya zaabu ne feeza ne batabiwaayo mu kkubo lya Katonda, basanyuse n’ebibonerezo ebiruma ennyo.