Era kuno kulangirira okuva eri Katonda n’omubakawe, okuteekwa okutuusibwa eri abantu, ku lunaku olukulu olwa Hijja, nti mazima Katonda amenyeewo e ndagaano zonna ezaakolebwa n'abo abagatta ku Katonda e bintu e birala, n’omubakawe bwatyo azimenyeewo, naye singa mwenenya ekyo kye kirungi gye muli, wabula singa mugaana mumanye nti mazima mmwe temusobola kulemesa Katonda, era (ggwe Muhammad) abo abaakaafuwala bawe amawulire ag’ebibonerezo e biruma.