Ate mujja kusanga abalala nga bo baagala babe mirembe nammwe, mu kiseera kyekimu babe mirembe n'abantu baabwe, buli wonna webaddizibwa eri obukafiiri babubbinkiramu. Bwebaba tebabavuddeeko era nebalangirira e mirembe ku mmwe, nebaziyiza e mikono gyabwe, (abo) mubakwate era mubatte wonna wemubagwikiriza, era kwabo twabawa mmwe olukusa olujjuvu okubakolako.