Katonda yakuba ekifaananyi eky'omuntu omufuge nga talina kintu kyonna kyasobola, n'ekifaananyi ekirala eky'oyo gwe tugabirira okuva gye tuli e riziki ennungi, nga naye (omuddu oyo) agaba ku yo mu kyama n'olwatu abaffe benkana?. Ebitendo byonna bya Katonda, wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.