Mulimu mu yo obubonero obwenkukunala, nga ekifo kya Ibrahim. Oyo yenna agiyingira abeera mirembe, era Katonda alaalise ku bantu okulambula e nyumba eyo kwoyo aba asobodde ebyetaagisa okutuuka gyeri, naye omuntu awakanya (obukakafu bwa Hijja) mazima ddala Katonda talina kyeyeeguya ku bantu.