. Musa bwe yamala okutuukiriza ekiseera (kye baalagaana), yatambula n'abantube (nga bagenda e misiri) naalaba omuliro ku ludda lw'olusozi, naagamba abantube nti: mulindeeko wano katono, mazima nze nina wendabye omuliro, si kulwa nga mbaleetera amawulire okuva we guli oba nembaleetera e kitawuliro mulyoke mwote.