Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ku bo (Nabbi Ibrahim n'abakkiriza abaali naye) ekyo kiri eri buli asuubira okufuna e mpeera okuva ewa Katonda ku lunaku lw'enkomerero. Naye oyo yenna anaaba akyuse (naava ku kukkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero), mazima ddala Katonda yye talina kye yetaaga okuva eri bitondebye, atenderezebwa bulijjo.