. Oluvanyuma netutonda mu mazzi ago e kisaayisaayi ate e kisaayisaayi ne tukitondamu e kinyama ate e kinyama ne tukitonderamu amagumba olwo nno amagumba ne tugambaza e nnyama, ate oluvanyuma ne tumutonda nga kitonde kirala (naafuuka omuntu nga afuuyiddwamu omwoyo) n'olwekyo Katonda musukkulumu oyo asinga abakozi be bintu bonna.
. Era mazima mulina mmwe mu nsolo ezirundibwa eky'okuyiga, tubanywesa mu ebyo ebiri mu mbuto zaazo era mulina mu zo emigaso mingi era nga mulya ezimu ku zo.
. Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti: tali ono (Nuhu) okugyako muntu nga mmwe, ayagala kwe sukkulumya ku mmwe singa Katonda yayagala (kutuma Malayika) yaalibadde atuma ba Malayika, kino tetukiwulirangako mu bakadde baffe abaasooka.
فاوحينا اليه ان اصنع الفلك باعيننا ووحينا فاذا جاء امرنا وفار التنور فاسلك فيها من كل زوجين اثنين واهلك الا من سبق عليه القول منهم ولا تخاطبني في الذين ظلموا انهم مغرقون ٢٧
. Awo nno twamutumira nti kola eryato nga okolera ku biragiro byaffe, era ne tumutumira nti ekigambo kyaffe bwe kinaatuuka e ttanuuru neefukumukamu amazzi olwo nno pakira mu lyo (eryato) ku buli kintu bibiri ekisajja n'ekikazi era pakiramu abantubo okugyako omuntu oyo ekigambo gwe kyakakatako edda mu bo, era toyogera nange ku abo abeeyisa obubi, mazima bbo ba kuzikirira.
. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange (bwe ntuuka okuva mu lyato lino) nzisa mu kifo eky'omukisa anti ggwe osinga bonna abasalawo ebifo (eby'okubeeramu).
. Abakungu abaakaafuwala mu bantube, era abaalimbisa okusisinkana olunaku lwe'nkomerero, era abo be twawa okweyagala mu bulamu bw'ensi, baagamba nti ono talina kyali okugyako muntu buntu nga mmwe, bye mulyako byalya, ne bye munywa byanywa.
. Era abo abawaayo bye baba bawaddeyo (ku lwa Katonda wa bwe) nga emitima gyabwe gitidde okuba nti mazima bbo bagenda kudda ewa Mukama omulabirizi wa bwe.
. Era tetuwaliriza muntu (kukola) okugyako ekyo ekiri mu busobozibwe era tulina ekitabo ekiraga mu butuufu (ebikolebwa) nabo nga tebagenda kulyazaamaanyizibwa.
. Bagambe nti obufuzi bwa buli kintu buli mu mukono gw'ani? Alina obusobozi obuwa obukuumi (oyo aba yeekubidde enduulu gyali, ate bwaba yeetaaga omuntu) takugirwa ku ye, (mwanukule) bwe muba nga mumanyi.
. Mbe nga nkola emirimu emirungi mu ebyo byessaakola, si bwe kiri mazima kyo kigambo bugambo yye kyayogera (naye nga tagenda kusobola kudda) ate era mu maaso gaabwe waliwo e kiseera (ekyawula wakati w'obulamu bw'ensi n'obw'oluvanyuma mwe balibeera) okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.
. Mazima ekitundu mu baddu bange baali bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tukkirizza kale tusonyiwe era otusaasire era ggwe osinga abasaasizi bonna.
. Oyo yenna asinza ekintu ekirala awamu ne Katonda so nga ate takirinaako bujulizi, mazima okubalibwa kwe kuli wa Mukama omulabiriziwe, mazima abakaafiiri tebayinza kwesiima.