Abange mmwe abakkiriza temuyigganga, nga muli mu mizizo gya Hijja oba Umrah, oyo yenna mu mmwe atta e kisolo kyo muttale nga agenderedde, ateekwa okuwa omutango, nga awaayo mu nsolo e zirundibwa e yenkana neeri gyeyasse, (nga ekyo okukituukako), kisalibwawo abantu babiri abeesimbu mu mmwe, ekyo nga kirabo e kiteekwa okutuusibwa ku Kaaba. Bwekitaba ekyo, ateekwa okuwa omutango gwokuliisa abanaku, oba okusiiba e nnaku ezenkana omutango ogwo, ebyo byonna biri bwebityo alyoke abe nga akomba ku bukaawu bwekikolwa kye yetantala. Byo e byakulembera Katonda yabisonyiwa, naye oyo addamu Katonda agenda kumubonereza, bulijjo Katonda nantakubwa ku mukono asobola okubonereza oyo gwaba asazeewo okubonereza.