Katonda tabavunaana olwebirayiro byammwe byemulayira mu kusaaga, naye abavunaana lwebyo byemuba mukakasizza. (E kilayiro omuntu kyalayira ng’akakasa bwakimenya), omutango gw'akyo kuliisa abanaku kkumi nga baliisibwa e mmere gyemuliisa abantu abo mu daala eryo mu makati, (mu kitundu kyammwe) oba okubambaza, oba okuta omuddu. Omuntu aba tafunye e kimu ku ebyo ateekwa okusiiba ennaku ssatu. Ogwo nno gw’emutango gw’ebirayiro byammwe byemunalayiranga, mwegendereze nnyo okulayira kwa mmwe. Bwatyo Katonda bw'abannyonnyola e bigambobye, musobole okubeera abeebaza.