Era lamula wakati waabwe ng’okozesa ebyo Katonda byeyassa, togobereranga okwagala kwa bwe era beegendereze baleme kukuggya ku bimu ku ebyo Katonda byeyassa gyoli, bwebaba nga bakoze e kyennyume kyekyo, manya nti mazima Katonda ayagala okubavunaana olw'ebimu ku byonoono byabwe, wabula nga bulijjo abantu abasinga obungi bonoonyi.