Mazima Katonda yakozesa abaana ba Israil endagaano, era netuggya mu bo abakulembeze kkumi nababiri, Katonda naagamba nti mazima njakuba wamu nammwe, bwe munaayimirizaawo e sswala, nemutoola Zzaka, nemukkiriza ababaka bange, era nemubawagira, era nemuwola Katonda oluwola olulungi, njakubasonyiwa ebyonoono byammwe, mbayingirize ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, naye oyo yenna alikaafuwala mu mmwe oluvanyuma lwekyo, aliba abuze okuva ku kkubo ettuufu.