. Nabwetutyo twasobozesa abantu okubazuula olwo nno bamanye nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era bamanye nti mazima essaawa (esembayo) teriimu kubuusabuusa. (Era) jjukira (abakaafiiri ) bwe baakaayana ku nsonga yaabwe (abamu), nebagamba nti mubazimbeko ekizimbe, Mukama omulabirizi waabwe y'asinga okumanya ebibakwatako, ate abalina ekigambo ekisinga obulungi nebagamba nti tujja kubazimbako omuzikiti.