Muvuganye nga mudda eri ekisonyiwo ekiva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe (era nga mudda), eri e jjana obugazi bwayo bwenkana obugazi bwe ggulu ne nsi nga yategekerwa abo abakkiriza Katonda nababaka be. Ebyo bigabwa bya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, era Katonda ye nnyini bigabwa ebisuffu.