. Ate (abatakkiriza) bamuvaako ne beeteerawo ba katonda abalala abatalina kintu kyonna kye batonda so ng'ate bbo baatondebwa, era nga tebalina buyinza kwetuusaako kabi oba ekirungi, era tebalina buyinza ku kufa wadde ku bulamu wadde ku kuzuukira.
. Abaakaafuwala bagamba nti ebigambo (bya Muhammad) tebirina kye biri okugyako okuba nti bulimba bwe yagunjaawo, era abantu abalala ne bamuyamba ku bwo, olwo nno ne baba nga baleese okweyisa obubi n'okutemerera.
. Oba eby'obugagga nebissibwa gyali (okuva mu ggulu) oba abe nga alina e nnimiro mwalya. Era abeeyisa ne bagamba nti temulina gwe mugoberera okugyako omusajja omuloge.
. Bagambe nti ekyo (eky'okuyingira omuliro) kye kirungi oba e jjana ey'olubeerera eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda, egenda kubeera mpeera gye bali era nga buddo.
. Era tetwatuma olubereberye lwo babaka okugyako nga mazima bbo baliira ddala emmere nga batambula ne mu butale, era netufuula abamu ku mmwe ekikemo eri abalala, abaffe munagumiikiriza, bulijjo Mukama omulabiriziwo alabira ddala.
. Abo abatasuubira kutusisinkana ne bagamba nti singa twassibwako ba Malayika oba netulaba Mukama omulabirizi waffe, mazima beekuza nnyo mu myoyo gya bwe ne babula olubula oluyitirivu.
. Olunaku lwe baliraba ba Malayika tewaliba mawulire ga ssanyu ku lunaku olwo eri aboonoonyi, era (ba Malayika) baligamba nti: kikafuuwe tekigenda kubaawo (omu ku mmwe okuyingira (e jjana).
. Abo abaakaafuwala ne bagamba nti singa Kur’ani yassibwa ku ye omulundi gumu, twagissa bwe tutyo (mu bitundu tundu) tube nga tunyweza nayo omutimagwo era ne tugikusomera olusoma (mpola mpola).
. Ali kumpi nnyo okutubuza nga atujja ku ba katonda baffe singa tunaaba tetunyweredde ku kusinza bbo, era bajja kumanya mu kiseera webanaalabira ebibonerezo ani eyabula okuva ku kkubo (eggolokofu).
. Oba olowooza nti abasinga obungi mu bo bawulira ebigambo bya Katonda, oba babitegeera, tebalina kye bali ku ebyo okugyako balinga nsolo, wabula bo be baabula okuva ku kkubo eggolokofu.
. Abaffe tolaba Mukama omulabiriziwo engeri gyawanvuyaamu ekisiikirize, singa yayagala yaali kirese nga kiyimiridde mu kifo kimu, ate twafuula enjuba nga y'eraga okubaawo n'okutambula kw'ekisiikirize.
. Era yye yooyo asindika empewo nga zisaasaanya amawulire ag'essanyu (enkuba) nga ekyo kiri wansi wa mikono gya kusaasirakwe, era tussa okuva mu ggulu amazzi amayonjo.
. Era (Katonda) yooyo eyagatta amazzi ag'ennyanja ebbiri (ez'enjawulo), gano malungi nnyo era nga ganywebwa ate nga gali g'amunnyu teganywebwa, era yassa wakati wa gombi ekyawula era ekiziyiza ekigagaana okwetabula.
. Era beebo abatasinza kintu kirala awamu ne Katonda, era abatatta muntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo ensonga, era abatayenda, omuntu akola ekimu ku ebyo agenda kusisinkana (e bibonerezo) bye bibi (bye).
. (Abaddu ba Katonda) era beebo tebawa bujulizi ku bigambo bya bulimba, era bwe bayita mu bifo omukolerwa ebitali bya magezi bayitawo nga beewa ekitiibwa.
. Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tuwe nga oggya mu betwafumbiriganwa nabo era nga oggya ne mu zadde lyaffe ekitebenkeza amaaso gaffe, era otufuule abakulembeze baabo abakutya.
. Abo nno bagenda kusasulwa nga baweebwa ebifo bya waggulu olw'obugumiikiriza bwe baakola. Nga bali mu byo bagenda kuweebwa ebiramuso ne ssalaamu (eziriva mu ba Malayika).
. Bagambe (ggwe Muhammad abo abawakanya Katonda) nti Katonda talina kimutawaanya lwa kuba nti temumusaba, mazima mwalimbisa era mu bwangu mujja kutuukibwako e bibonerezo ebyakakata edda ku mmwe.