Muzibe taliiko kunenyezebwa, n’omulema taliiko kunenyezebwa, wadde omulwadde naye taliiko kunenyezebwa, oyo yenna agondera Katonda n’omubaka we amuyingiza e jjana, emigga nga gikulukutira wansi waazo, ate oyo yenna akyuka (naatamugondera) agenda ku mubonereza ebibonerezo ebiruma ennyo.