Era mujjukire lwe twakozesa abaana ba Israel endagaano nti; temusinzanga ekintu kyonna okugyako Katonda. Bo abazadde ababiri, n'abooluganda olw'okumpi, ne bamulekwa n'abanaku mubayisenga bulungi. Era mwogerenga bulungi n'abantu. Era muteekwa okuyimirizaawo e sswala, mutoole ne zzaka. Wabula (mu kifo ky'okukola ebyo) mwakyuka, okugyako batono mu mmwe ng'ate mu kukola ekyo mwali muva ku ndagaano.