(Musa) naagamba nti; (Katonda) agamba nti; erina kubeera nte etenyoomebwa, nga si nnimi era nga tefukirira nnimiro, nga nnamu bulungi, eteriimu bbala ddala lyonna. Nebagamba nti; kaakati otulaze amazima. Olwo ne balyoka basala ente, naye kaabula kata baleme okukikola.