Era mujjukire e kiseera Musa weyasabira Katonda, awe abantu be amazzi, netumugamba nti kuba omuggo gwo ku jjinja. (Bwe yagukubako) Nemufukumukamu e nsulo kkumi nabbiri (12). Buli kika (kya bayisirayiri) ne kimanya obunywero bwakyo. (Katonda nabagamba nti) Mulye, munywe mu bigabwa bya Katonda, temwewaggulanga mu nsi ne mubeera aboonoonyi.