Era mujjukire Musa, lwe yagamba abantu be; abange (mmwe) abantu bange, mazima mweryazaamanyizza mwekka olwokusinza e nnyana. Nolw’ekyo mwenenyeze omutonzi wa mmwe. Mukutuukiriza ekyo mwette mwekka. Ekyo kye kirungi gye muli ew'omutonzi wa mmwe. Bwe mwakola ekyo Katonda kwe kubasonyiwa, mazima ddala ye, yakkiriza okwenenya era omusaasizi.