Abaffe mmwe (abayudaaya) muyinza okugamba nti mwaliwo mu kiseera Yakuubu bwe yali agenda okufa, naagamba abaana be nti; kiki kyemulisinza oluvanyuma lwange? Ne bagamba nti; tugenda kusinza Katonda wo era Katonda wa bakadde bo, Ibrahim, Ismail ne Ishaak. Katonda omu yekka era nga tugenda kwewaayo gyali.