Oluvanyuma mu kifo kye kibi ne tuwaanyisaamu e kirungi, okutuusa lwe baayala e mbeera yaabwe neetereera, ne bagamba nti, (si ffe tusoose) ne bakadde baffe baatuukibwako obuzibu, ate oluvanyuma ne batuukibwako obwangu. (awamu n'ekyo Katonda agamba) ne tubakwata (ne tubatta) nga nabo tebategeera.