Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe Katonda, yooyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi mu nnaku mukaaga, olwo nno naatuula ku Arish, e kiro akibikka omusana, nga kigunoonya mu bwangu obuyitirivu, era yatonda e njuba n’omwezi ne munyenye nga byonna bitambulira ku kiragiro kye, abange mukimanye nti okutonda n’ebiragiro bibye. Yayawukana Katonda omulabirizi w’ebitonde.