Era wakati w’a bantu b’o mu muliro n’a bo mu jjana wagenda kubaawo e kikomera, nga waggulu ku kikomera waliyo abasajja abaawula buli muntu okusinziira ku bulambebwe, (abantu abo) balikoowoola abantu b’o mu jjana, nebabagamba nti e mirembe gibeere ku mmwe, anti (abalibeera mu kifo e kyo), baliba tebannayingira jjana era nga amaddu gabatta.