Naababuza bombi ng’ayita mu kubakwenyakwenya, bwe baamala okukomba ku buwoomu bw’omuti, obwereere bwabwe bwa beeyoleka, olwo nno ne batandika okunoga nga bwe beebikkako e bikoola byo mu jjana Mukama omulabirizi waabwe naabakoowoola (mu ddoboozi eryomwanguka) nti, ssaabagaana mwembiriri omuti ogwo era mwembiriri nembagamba nti mazima ddala Sitane mulabe ow'olwatu ku mmwe mwembiriri.