Gamba nti si nze neesalirawo e kirungi oba e kibi, okugyako Katonda kyaba ayagadde, era singa nnali mmanyi e byekusifu, nandiyitirizza okukola e birungi, mu ngeri y'emu tewandibadde kabi kantuukako, nze siri kintu kyonna okugyako okuba omutiisa, omusanyusa eri abo abatya Katonda.