Era jjukira bwe baalagirwa nti, mutuule mu kitundu kino, mulye nga muli mu kyo, wonna wemwagala, era mugambe nti, Hittwa (tuggyeko e bibi), era muyingire omulyango gw’ekibuga nga muvunnamye, olwo nno tujja kubasonyiwa e byonoono bya mmwe, tujja kwongeza abakozi b’obulungi.