Era twabakutulamu e nnyiriri kkumi na bbiri nga bika, era twatumira Musa, abantube bwe baamusaba okubafunira amazzi, ne tumugamba nti, kuba omuggo gwo ku jjinja, olwo nno nemufubutukamu e nsulo kkumi na bbiri, buli bantu baamanya webalina okunywa, ekirala twabasiikiriza n’ekire, era twabassiza Manna, ne Saluwa (nga bwe tubagamba nti) mulye e birungi mu ebyo bye tubagabira, si ffe bebaayisa obubi, wabula beeyisa bokka obubi.