Tuwandiikeko birungi kuno ku nsi, era ne ku nkomerero, (anti) tukwemenyedde, (Katonda) naagamba nti, e bibonerezo byange mbituusa kw’oyo gwemba njagadde, ate okusaasira kwange kwamalayo buli kintu, ngenda ku kukuwa abo abatya Katonda, nebatoola zzaka, era abo abakkiriza e bigambo byaffe.