Abo abeekuza mu nsi awatali nsonga ntuufu, ngenda kubeesambya e bigambo byange, buli lwe banaalabanga, akabonero konna, tebajja ku kakkirizanga, era bwe banaalabanga e kkubo ly’o bu lungamu, tebagendanga kulifuula kkubo gye bali (kulikwata), naye bwe banaalabanga e kkubo ly’obwonoonefu lye banaatwalanga okuba e kkubo, ekyonno lwa kuba nti mazima ddala bo, baalimbisa e bigambo byaffe, nebaba nga ku byo, beesuulirayo gwa naggamba.