Era twamuwandiikira ku mbaawo buli kintu, kibe ekyokubuulirira, era nga kunnyonnyola mu bujjuvu, ku buli kintu, kale nno bikuume butiribiri, era olagire abantubo babikwate mu ngeri esinga okuba e nnungi, oluvanyuma ngenda ku balaga e kifo ky’aboonoonyi.