Era abantu abo abaali batwalibwa okuba nti ba wansi netubasikiza obuvanjuba n’obugwanjuba bwensi, eyo gye twassaamu e mikisa, nekituukirira e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, e kirungi ku baana ba Israil ku lw'ebyo bye baagumiikiriza, netusaanyaawo byonna Firawo n’abantube bye baali bakola ne bye baali bazimba.