Mazima abo abakkiriza nebasenguka, ne balafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yaabwe n’emyooyo gyabwe, era n’abo abaabudamya era ne bataasa (abaava e Mekkah) abo nno, abamu bateekwa okudduukirira bannaabwe. Ate abo abakkiriza nebatasenguka temuvunaanyizibwa ku kintu kyonna mu kubataasa, okutuusa nga basenguse. Naye bwe babakubira e nduulu ku nsonga eye ddiini, olwo nno muteekwa okubadduukirira okugyako nga bakaayagana n’abantu bemulina nabo e ndagaano. Nga bulijjo Katonda alaba bye mukola.