Abaffe tebalaba e mirembe e meka agyaliwo oluberyeberye lwabwe gyetwazikiriza! twabawa okwegazaanyiza mu nsi, okusinga ku ngeri gyetwawa mmwe okwegazanyizaamu, ne tubawa e ggulu okuba nga libafukirira e nkuba mu bungi, ne tussawo e migga nga gikulukutira wansi waabwe, naye era ne tubazikiriza olwebibi byabwe ne tuleeta oluvanyuma lwabwe omulembe omulala.