Era yye yooyo atonnyesa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, netumeza nago e bimera bya buli kintu, ne tuggya mu byo e bya kiragala, nga tuggya mu byo e mpeke ezeeweese ku zinnaazo, ne mu mitende ne mubaamu egirina e birimba e bireebeeta, n’ennimiro ez’emizabibu n’e za zaitun ne nkomamawanga, e bifaanagana n'ebitafaanagana, tunuulira e bibala bya byo bwebiba bissizza n'okwengera kwabyo mazima ddala mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza.