(Wabula Abayudaaya) tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira, bwe baagamba nti Katonda tassanga ku muntu yenna kintu kyonna.Gamba (gwe Nnabbi Muhammad) nti ani yassa e kitabo e kyo Musa kye yajja nakyo nga kitangaala era e kyokulungama eri abantu, (mmwe) kye mwafuula e mpapula zemulaga abantu, ate ne mukweka bingi so nga ate mwamanyisibwa bye mwali temumanyi, mmwe ne bakadde ba mmwe, bagambe nti Katonda ye yassa e kitabo e kyo, olwo nno obaleke mu bubuze bwabwe nga bazannya.