Vva kwabo abaafuula e ddiini yaabwe e kintu e kyomuzannyo era e kyekinyumu, obulamu bw'ensi ne bubagayaaza, naye buulirira nga okozesa Kur’ani omwoyo guleme kuzikirizibwa olw'ebyo bye yakola, tegulina nga oggyeko Katonda, w’amukwano wadde omuwolereza, nebweguliwaayo e nnunuzi e faanana etya, tegenda kukkirizibwa kuva gyeguli, abo beebo abaazikirizibwa olw'ebyo bye baakola, baliweebwa e byokunywa e by’olweje, era balissibwako e bibonerezo e biruma ennyo olw’ebyo bye baawakanyanga.