Era yye yooyo abeebasa e kiro (nemuba nga abafudde) era amanyi bye mwakoze e misana, ate oluvanyuma abazza e ngulu nga bukedde (ne kifanana nga abazuukizza okuva mu kufa,) ekyo kisobozese buli kitonde okumalayo ebbanga eryakigererwa. Oluvanyuma gyali yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno abategeeza byonna bye mwakolanga.