Gamba ggwe (Nabbi Muhammad nti) si bagamba nti nze nnina amawanika ga Katonda, wadde okubagamba nti manyi e byekusifu, nga bwe siyinza kubagamba nti mazima nze ndi Malayika, tewali kyengoberera okugyako obubaka obutumwa gyendi. Gamba nti muzibe nooyo alaba benkana, abaffe temufumiitiriza.