Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) mulaba mutya singa Katonda abafuula ba kiggala era ba muzibe, naateeka ne nvumbo ku mitima gya mmwe, katonda ani atali Katonda omu ayinza okubibaddiza, laba e ngeri gye tunnyonnyolamu obubonero (bwange) ate bo ne babuvaako.