Era temusembereranga e mmaali ya ba mulekwa okugyako mu ngeri esinga okuba e nnungi okutuusa omwana oyo nga akuze mu birowoozo, era mutuukirize e bipimo n'ebigero mu bwesimbu, omuntu tetumulaalikako okugyako e kyo kyasobola, era bwe muba nga mwogera mulage amazima aweebwako obujulizi ne bwaba wa luganda, era mu ngeri e yenjawulo mutuukirize obweyamu bwa mmwe bwe mwawa Katonda. E byo nno Katonda yabibakalaatira kibayambe okujjukira (mwekube mu kifuba).