Gamba (Ggwe Muhammad) muleete abajulizi ba mmwe abo abajulira nti mazima Katonda yaziyiza e kintu gundi, bwe bajulira ne bakikakasa gwe toba nabo, era togoberera n'omulundi n'ogumu okwagala kw'abo abalimbisa e bigambo byaffe, n'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero, era nga bo bagatta e bintu e birala ku Katonda.