Gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti: mu bubaka obwampebwa temuli kiri Haramu kwoyo aba ayagadde okukirya, be ppo nga ebadde nnyamanfu oba omusaayi ogwa kafekye, oba e nnyama ye mbizzi, mazima e kikolwa e ky’okulya e bintu e byo kivve, oba (mu biri haram) y'ensolo esalibwa mu bugyemu nga eyogereddwaako e rinnya eritali lya Katonda. Wabula omuntu aba alemereddwa nga takikola lwa jjoogo wadde okumenya amateeka ga Katonda, mazima Mukama omulabiriziwo musonyiyi era musaasizi.