E bisolo e birundibwa (Katonda bye yatukkiriza okulya) e mitindo gyabyo giri munaana, e biri mu ndiga, n’ebiri mu mbuzi, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti e nsajja z’ombiriri Katonda ze yaziza ku mmwe, oba e nkazi, oba amawako g’azombiriri, mumbulire nga musinziira ku kumanya bwe muba nga bye mwogera bya mazima.