Era abagatta ku Katonda ebintu e birala mu ndaba yaabwe bagamba nti, bino e bisolo n’ebirime tebikkirizibwa kuriibwa okugyako oyo gwetuba twagadde, ate nebaba n’ebisolo bye baziza okwebagala, ate nebaba n’ebisolo e birala bye batayogererako linnya lya Katonda ( nga bagenda okubisala) byonna nga bigambo bigunje ku Katonda, Katonda ajja kubasasula olw'ebyo bye baali bagunja.