Nyinza okuleka Katonda nenfuna omulala ansalirawo! nga ate yye Katonda y'oyo eyassa gye muli e kitabo( kuran) nga kinnyonnyola buli kimu, abo nno betwawa e kitabo( Tawraat n'enjili) bamanyi mazima ddala kyassibwa nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo, nga kyonna mazima meereere, kale nno tobeer mu babuusabuusa.