(Nga bwetukugezesa ggwe Nabbi Muhammad n’oba n’abalabe mu bakaafiiri) ,bwe kityo buli Nabbi twamuteekako omulabe nga ali mu bantu ne mu majinni, abamu batumira bannaabwe e bigambo e biwoomu, naye nga bibi olwe kigendererwa kyo kugayaaza, naye singa Mukama omulabiriziwo aba ayagadde tebandikikoze kale nno baleke n'ebyo bye bagunjawo.