. Era mujjukire e kibiina mu mmwe bwe kyagamba nti, abange mmwe abantu be Yathriba (Madinah) temusobola kubeera wano, n'olwekyo muddeeyo (mu Maka gammwe), ate e kibiina ekirala mu bo baasaba Nabbi (S.A.W.) abakkirize baleme kugenda ku lutalo, nga bagamba nti, mazima amayumba gaffe meereere, so nga tegaali meereere, baali tebalina kye baagala kyonna okugyako okudduka.